Jeremiah 23

Ettabi Ettukuvu

1 a“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama. 2 bNoolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama. 3 c“Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. 4 dNdibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.

5 e“Ennaku zijja,
lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
6 fMu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.
7 g“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama, 8 hnaye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.

Bannabbi Abalimba

9 iEbikwata ku bannabbi:

omutima gwange gwennyise mu nda yange
amagumba gange gonna gakankana,
nninga omusajja omutamiivu,
ng’omusajja afugiddwa omwenge,
ku lwa Mukama
n’ebigambo bye ebitukuvu.
10 jEnsi ejjudde abenzi;
olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu
era n’amalundiro g’omu ddungu meereere.
Bannabbi bagoberera amakubo amabi
era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.

11 k“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda,
ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,”
bw’ayogera Mukama.
12 l“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera
era bajja kusuulibwa mu kizikiza
era eyo gye baligwira.
Ndibaleetako okuzikirira
mu mwaka gwe balibonerezebwamu,”
bw’ayogera Mukama.

13 m“Mu bannabbi b’e Samaliya
nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa.
Balagulira wansi wa Baali
ne babuza abantu bange Isirayiri.
14 nEra ne mu bannabbi ba Yerusaalemi
ndabye ekintu ekibi ennyo.
Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.
Bagumya abo abakozi b’ebibi
ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.
Bonna bali nga Sodomu gye ndi;
abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”
15 oNoolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,

“Nzija kubaliisa emmere ekaawa
banywe amazzi ag’obutwa,
kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,
obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”
16 pBw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti,

“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:
babajjuza essuubi ekyamu.
Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,
so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
17 qBagamba abo abannyooma nti,
Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’
Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe
babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
18Naye ani ku bo
eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba
oba okuwulira ekigambo kye?
19 rLaba, omuyaga gwa Mukama
gujja kubwatuka n’ekiruyi,
empewo ey’akazimu
eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
20 sObusungu bwa Mukama tebujja kukoma
okutuusa ng’amaze okutuukiriza
ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi.
21 tSitumanga bannabbi bano,
songa bagenda
badduka n’obubaka buno,
era sogeranga nabo,
songa bategeeza obunnabbi.
22 uNaye singa bayimirira mu maaso gange,
bandibuulidde abantu bange ebigambo byange,
era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi
era ne mu bikolwa byabwe ebibi.

23 v“Ndi Katonda abeera okumpi wokka,
so si abeera ewala?”
bw’ayogera Mukama.
24 w“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama
ne sisobola kumulaba?”
bw’ayogera Mukama.
“Sijjuza eggulu n’ensi?”
bw’ayogera Mukama.
25 x“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ 26 yKino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe? 27 zBalowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. 28Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama. 29 aa“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.

30 ab“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama. 31 ac“Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’ 32 adDdala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.

Obubaka Obukyamu ne Bannabbi Aboobulimba

33 ae“Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’ 34 afNnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge. 35 agKino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’ 36 ahNaye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama ow’Eggye, Katonda waffe. 37Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘Mukama, agambye ki?’ 38Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ 39 aikyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe. 40 ajNdibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, n’ensonyi ez’olubeerera ebitagenda kwerabirwa.”

Copyright information for LugEEEE